Psalms 59

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi, Sawulo bwe yatuma bakuume enju ya Dawudi bamutte.

1 aAyi Katonda wange, mponya abalabe bange;
onnwanirire, abantu bwe bangolokokerako.
2 bOmponye abakola ebitali bya butuukirivu,
era ondokole mu batemu.

3 cLaba banneekwekeredde nga banteega okunzita.
Abasajja ab’amaanyi abakambwe banneekobera, Ayi Mukama,
so nga soonoonye wadde okubaako ne kye nsobezza.
4 dSirina kye nsobezza, naye bateekateeka okunnumba.
Tunuulira obuzibu bwange, osituke, onnyambe.
5 eAyi Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri,
golokoka obonereze amawanga gonna;
abo bonna abasala enkwe tobasaasira.

6 fBakomawo buli kiro,
nga babolooga ng’embwa,
ne batambulatambula mu kibuga.
7 gLaba, bwe bavuma!
Ebigambo biwamatuka mu kamwa kaabwe ng’ebitala,
nga boogera nti, “Ani atuwulira?”
8 hNaye ggwe, Ayi Mukama, obasekerera,
era amawanga ago gonna oganyooma.

9 iAyi Katonda, Amaanyi gange, nnaakwesiganga
era nnaakutenderezanga, kubanga ggwe kigo kyange ekinywevu.
10Katonda wange anjagala
anankulemberanga,
ne ndyoka neeyagalira ku balabe bange.
11 jTobatta, Ayi Mukama, engabo yaffe,
abantu bange baleme kwerabira;
mu buyinza bwo obungi, baleke batangetange;
n’oluvannyuma obakkakkanyize ddala.
12 kAmalala gaabwe n’ebyonoono ebiva mu kamwa kaabwe,
n’ebigambo by’oku mimwa gyabwe
leka byonna bibatege ng’omutego.
Kubanga bakolima era ne boogera eby’obulimba.
13 lBamaleewo n’ekiruyi kyo,
bamalirewo ddala;
amawanga gonna galyoke gategeere
nga Katonda wa Yakobo y’afuga ensi yonna.

14Bakomawo nga buwungedde
nga babolooga ng’embwa,
ne batambulatambula mu kibuga.
15 mBanoonya emmere buli wantu mu kibuga,
ne bawowoggana bwe batakkuta.
16 nNaye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go;
mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo;
kubanga ggwe kigo kyange,
era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.

17Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza;
kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.
Copyright information for LugEEEE